1 Samuel 12:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno kabaka wammwe wuuyo gwe mwalonda, gwe mwasaba; Omukama wuuyo abateereddewo kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano kabaka gwe mulonze era gwe mwasaba wuuno, era laba Mukama ataddewo kabaka okubafuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno kaakano mulabe kabaka gwe mulonze era gwe mwasaba, Mukama amutaddewo okubafuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale kaakano kabaka gwe mulonze wuuno. Mwamusaba, era wuuno Mukama amubawadde okubafuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno kaakano laba kabaka gwe mulonze era gwe musabye: era, laba, Mukama ataddewo kabaka okubafuga.