1 Samuel 12:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati si makungula ga ŋŋano? Ŋŋenda kukowoola Omukama aleete laddu n'enkuba; munaamanya ne mulabira ddala nti ensobi yammwe yali nnene gye mwakola mu maaso g'Omukama okwesabira kabaka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bino kaakano si biseera bya kukungula ŋŋaano. Naye nzija kusaba Mukama, aweereze okubwatuka n’enkuba, mulyoke mutegeere nga kye mwakola okusaba kabaka kyali kibi mu maaso ga Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekiseera kino si kye ky'amakungula g'eŋŋaano? Naye nja kusaba Mukama aweereze okubwatuka era attonyese enkuba, mulyoke mulabe era mumanye nga mwakola obubi bunene okwesabira kabaka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera kino kya makungula ga ŋŋaano. Naye ŋŋenda okusaba Mukama aleete okubwatuka, atonnyese enkuba mulyoke mumanye era mulabe ng'ekibi kyammwe kye mwakola mu maaso ga Mukama, Mukama okumusaba kabaka, kinene.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Leero si ge makungula g'eŋŋaano? Naasaba Mukama aweereze okubwatuka n'enkuba: awo munaamanya ne mulaba ng'obubi bwammwe bunene bwe mwakola mu maaso ga Mukama nga mwesabira kabaka.