1 Samuel 12:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bonna ne bagamba Samweli nti: “Sabira abaweereza bo eri Omukama Katonda wo, tuleme kufa; anti twongedde nsobi ku bibi byaffe byonna okwesabira kabaka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abantu bonna ne bagamba Samwiri nti, “Tusabire eri Mukama Katonda wo, ffe abaweereza bo, tuleme kufa, kubanga twongedde ku bibi byaffe ebirala byonna, bwe twasabye kabaka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bonna ne bagamba Samwiri nti, “Sabira abaddu bo eri Mukama Katonda wo tuleme okufa; kubanga twongedde ku bibi byaffe byonna n'ekibi kino, eky'okwesabira kabaka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bagamba Samweli nti: “Ffe abaweereza bo, tusabire eri Mukama Katonda wo, tuleme okufa, kubanga ku bibi byaffe ebingi, twayongerako na kino eky'okwesabira kabaka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bonna ne bagamba Samwiri nti Sabira abaddu bo eri Mukama Katonda wo tuleme okufa: kubanga twongedde ku bibi byaffe byonna n'ekibi kino, okwesabira kabaka.