1 Samuel 12:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati wuuyo mulina kabaka ow'okubakulembera. Nze nkaddiye, ndi wa nvi; bo abaana bange bali nammwe. Mbakulembedde okuva mu buvubuka n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano mulina kabaka ng’omukulembeze wammwe. Naye nze nkaddiye, mmeze n’envi, era n’abaana bange bali wano nammwe. Mbadde mukulembeze wammwe okuva mu buvubuka bwange n’okutuusa leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era, laba, kaakano kabaka atambulira mu maaso gammwe; nange ndi mukadde, mmeze n'envi; era, laba, batabani bange bali nammwe, era n'atambulira mu maaso gammwe okuva mu buto bwange ne leero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano wuuyo abakulemberenga. Nze ndi mukadde ow'envi, era mulaba batabani bange abali nammwe. Mbakulembedde okuva mu buvubuka bwange n'okutuuka kati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era, laba, kaakano kabaka atambulira mu maaso gammwe: nange ndi mukadde, mmeze n'envi; era, laba, batabani bange bali nammwe: era natambulira mu maaso ganunwe okuva mu buto bwange ne leero.