1 Samuel 12:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli n'agumya abantu nti: “Muleke kutya. Mukoze ekibi ekyenkana wano, naye muleme kuva ku Mukama, wabula muweereze Omukama n'omutima gwammwe gwonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Samwiri n’addamu abantu nti, “Temutya, okukola mwakola ebibi ebyo byonna, naye temuvanga ku Mukama, kaakano mumuweerezenga n’omutima gwammwe gwonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Samwiri n'agamba abantu nti, “Temutya, okukola mwakola ekibi kino kyonna, naye temukyamanga obutagobereranga Mukama, naye muweerezenga Mukama n'omutima gwammwe gwonna;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Samweli n'agamba abantu nti: “Temutya. Mukoze ekibi ekyenkanidde awo, naye temukyamanga ne mulekayo okugobereranga Mukama, wabula mumuweerezenga n'omutima gwammwe gwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Samwiri n'agamba abantu nti Temutya: okukola mwakola ekibi kino kyonna: naye temukyamanga obutagobereranga Mukama, naye muweerezenga Mukama n'omutima gwammwe gwonna;