1 Samuel 12:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mazima, Omukama tajja kwabulira bantu be olw'okubeera erinnya lye ekkulu, kubanga Omukama ye yasiima okubeefuulira abantu be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama tagenda kwabulira bantu be, olw’erinnya lye ekkulu, kubanga Mukama yasiima okubafuula ababe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama taayabulirenga bantu be olw'erinnya lye ekkulu; kubanga yasiima mmwe okubafula eggwanga lye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama, olw'erinnya lye ekkulu, tagenda kubaabulira mmwe, kubanga yasiima okubafuula eggwanga lye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama taayabulirenga bantu be olw'erinnya lye ekkulu: kubanga Mukama yasiima okubeefuulira yekka eggwanga.