1 Samuel 12:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye nze mwene, kikafuuwe okukola ekibi ekyenkana awo eri Omukama, nga ndekayo okubasabira n'okubayigiriza ekkubo eddungi, ettuufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nze ku lwange, kikafuuwe, okwonoona eri Mukama ne ssibasabira; nnaabalaganga ekkubo ettuufu era eggolokofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kikafuuwe nze okusobya ku Mukama okulekayo okubasabira, n'okubayigiriza ekkubo eddungi eggolokofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era kikafuuwe nze okukola ekibi ne nnyiiza Mukama nga ndekayo okubasabira. Naye nja kubayigirizanga ekirungi era ekituufu kye muteekwa okukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nze kiddire eri nze okusobya ku Mukama nga ndekayo okubasabira: naye naabayigirizanga ekkubo eddungi eggolokofu.