1 Samuel 12:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno mutye Omukama, mumuweereze mu bwesimbu n'omutima gwammwe gwonna; mwefumiitirize by'akoze mu mmwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka mutyenga Mukama era mumuweerezenga n’obwesigwa n’omutima gwammwe gwonna, nga mujjukira ebintu ebikulu bye yabakolera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyokka mutyenga Mukama mumuweererezenga mu mazima n'omutima gwammwe gwonna; kubanga mulowooze ebigambo bye yabakolera bwe byenkana obukulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale mussengamu Mukama ekitiibwa, mumuweerezenga mu bwesigwa n'omutima gwammwe gwonna, nga mujjukira ebintu ebikulu by'abakoledde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyokka mutyenga Mukama mumuweererezenga mu mazima n'omutima gwammwe gwonna: kubanga mulowooze ebigambo bye yabakolera bwe byenkana obukulu.