1 Samuel 12:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzuuno nno. Munnumirize mu maaso g'Omukama ne mu maaso g'omusiige we: Ani gwe nali ntwalidde ente ye? Ani gwe nali ntwalidde endogoyi ye? Ani gwe nali ndyazaamaanyizza? Ani gwe nanyigiriza? Ani gwe nali nzigye enguzi mu ngalo ze n'enziba amaaso? Bw'abaawo, nzija kumugatta.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nzuuno mu maaso gammwe. Munnumirize ensonga yonna mu maaso ga Mukama ne mu maaso g’oyo gwe yafukako amafuta. Ani gwe nnali ntwalidde ente ye? Oba ani gwe nnali ntwalidde endogoyi ye? Oba ani gwe nnali ndyazaamaanyizza? Oba ani gwe nnali njooze? Oba ani gwe nnali nsabye enguzi? Bwe wabaawo anvunaana mu nsonga yonna nzija kumuliyira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nzuuno: munnumiririze mu maaso ga Mukama ne mu maaso g'oyo gwe yafukako amafuta, ani gwe nnanyagako ente ye? Oba ani gwe nnanyagako endogoyi ye? Oba ani gwe nnali ndyazaamaanyizza? Ani gwe nnali njooze? Oba ani gwennajjako enguzi okunziba amaaso? Munnumirize nange nnabasasula.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nzuuno, munnumirize mu maaso ga Mukama ne mu maaso g'oyo gwe yanfukako omuzigo. Ani gwe nanyagako ente ye? Oba ani gwe nanyagako endogoyi ye? Era ani gwe nali ndyazaamaanyizza? Oba ani gwe nali njooze? Oba ani gwe nalyako enguzi okunziba amaaso? Bwe mba nga nnina ku ebyo kye nakola, nja kubibaddizaawo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze nzuuno: munnumiririze mu maaso ga Mukama ne mu maaso g'oyo gwe yafukako amafuta: ani gwe nnanyagako ente ye? oba ani gwe nnanyagako endogoyi ye? oba ani gwe nnali ndyazaamaanyizza? ani gwe nnali njooze? oba ani gwe nnatoolako mu ngalo ze eaguzi okunzibya amaaso nange naabasasula.