1 Samuel 12:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne baddamu nti: “Totulyazaamaanyanga oba okutunyigiriza; toliiko gwe wali oggyeeko kintu n'omu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne baddamu nti, “Totunyagangako newaakubadde okutujooga, wadde okulya enguzi okuva mu mukono gw’omuntu yenna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne baddamu nti “Totulyazaamaanyangako, totujoogangako, so tolyanga nguzi ku muntu yenna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagamba nti: “Totulyazaamaanyanga, totujooganga era totwalanga kintu kya muntu n'omu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne boogera nti Totulyazaamaanyanga so totujooganga, so totoolanga kintu mu ngalo z'omuntu yenna.