1 Samuel 12:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Omukama ye mujulirwa anaabalumiriza olwa leero, era n'omusiige we, nti temuzudde kintu na kimu mu mikono gyange.” Ne bakkiriza nti: “Ye mujulirwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Samwiri n’abaddamu nti, “ Mukama ye mujulirwa gye muli, era n’oyo gwe yafukako amafuta mujulirwa leero, nga sirina nsobi yonna mu maaso gammwe.” Ne baddamu nti, “Mujulirwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “Mukama ye mujulirwa gye muli n'oyo gwe yafukako amafuta ye mujulirwa leero kubanga temulabye kibi kyonna kye nali nkoze.” Ne baddamu nti, “Ye mujulirwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Samweli n'abagamba nti: “Mukama ye mujulirwa abalumiriza, n'oyo gwe yafukako omuzigo ye mujulirwa olwaleero, nga temulabye kintu kye nali ntutte.” Ne baddamu nti: “Ye mujulirwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Mukama ye mujulirwa gye muli n'oyo gwe yafukako amafuta ye mujulirwa leero nga mmwe temulabye kintu mu mukono gwange. Ne boogera nti Ye mujulirwa.