1 Samuel 12:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli n'agamba abantu nti: “Omukama ye yalonda Musa ne Aroni, era eyaggya bajjajjammwe mu nsi y'e Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Samwiri n’agamba abantu nti, “ Mukama ye yalonda Musa ne Alooni era n’aggya bajjajjammwe mu Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Samwiri n'agamba abantu nti, “Mukama ye mujulirwa eyassaawo Musa ne Alooni era eyaggya bajjajjammwe mu nsi y'e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Samweli era n'agamba abantu nti: “Mukama ye yassaawo Musa ne Arooni, era ye yaggya bajjajjammwe mu nsi y'e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Samwiri n'agamba abantu nti Ye Mukama eyassaawo Musa ne Alooni era eyaggya bajjajjammwe mu nsi y'e Misiri.