1 Samuel 12:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo bwe yajja mu Misiri, bajjajjammwe baalaajanira Omukama, Omukama n'atuma Musa ne Aroni, ne baggya bajjajjammwe mu Misiri, ne babassa mu kifo kino.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Yakobo bwe yabeera mu Misiri, bajjajjammwe ne bakaabirira Mukama; Mukama yatuma Musa ne Alooni, abaabaggya mu Misiri, n’abateeka mu kifo kino.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo bwe yali mu Misiri, bajjajjammwe ne bakaabira Mukama, awo Mukama n'atuma Musa ne Alooni ne baggyayo bajjajjammwe mu Misiri, Mukama n'abatuuza mu kifo kino.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo bwe yagenda e Misiri, bajjajjammwe ne bakaabirira Mukama, Mukama n'atuma Musa ne Arooni, ne baggya bajjajjammwe e Misiri, ne babasenza mu nsi eno.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo bwe yali atuuse mu Misiri, bajjajjammwe ne bakaabira Mukama, awo Mukama n'atuma Musa ne Alooni eyaggya bajjajjammwe mu Misiri n'abatuuza mu kifo muno.