1 Samuel 12:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Beerabira Omukama Katonda waabwe, naye n'abawaayo mu mikono gya Sisera omukulu w'eggye ly'e Kazori, ne mu mikono gy'Abafilisitiini, ne mu mikono gya kabaka w'Abamowabu, abaabalwanyisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye ne beerabira Mukama Katonda waabwe, kyeyava abatunda mu mukono gwa Sisera omuduumizi w’eggye lya Kazoli, ne mu mukono gw’Abafirisuuti, ne mu mukono gwa kabaka wa Mowaabu, abaabalwanyisanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ne beerabira Mukama Katonda waabwe, n'abawaayo mu mukono gwa Sisera, omwami w'eggye lya Kazoli ne mu mukono gw'Abafirisuuti ne mu mukono gwa kabaka wa Mowaabu, ne balwana nabo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bajjajjammwe ne beerabira Mukama Katonda waabwe, n'abawaayo mu mikono gya Sisera omukulu w'eggye ly'ekibuga Hazori, ne mu mikono gy'Abafilistiya, ne mu mikono gya kabaka wa Mowaabu, ne babalwanyisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ne beerabira Mukama Katonda waabwe, n'abatunda mu mukono gwa Sisera, omwami w'eggye lya Kazoli ne mu mukono gw'Abafirisuuti ne mu mukono gwa kabaka wa Mowaabu, ne balwana nabo.