1 Samuel 13:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aba amaliriza ati okuweereza ekitambiro ekyokye, ne Samweli n'atuuka; Sawulo n'agenda okumusisinkana amwanirize.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe yali yakamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Samwiri n’atuuka. Sawulo n’agenda okumwaniriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka nga kyajje amale okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, laba Samwiri n'ajja; Sawulo n'afuluma okumusisinkana amulamuse.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yali kyajje amale okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Samweli n'atuuka. Awo Sawulo n'avaayo okumusisinkana n'okumulamusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka nga kyajje amale okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, laba, Samwiri n'ajja; Sawulo n'afuluma okumusisinkana amulamuse.