1 Samuel 13:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli n'amugamba nti: “Kiki ky'okoze?” Sawulo n'ayanukula nti: “Bwe ndabye ng'abantu batandise okusaasaana, nga naawe tozze mu nnaku ze walaga, bo Abafilisitiini nga beekuŋŋaanya e Mikumasi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Samwiri n’amubuuza nti, “Kiki kino ky’okoze?” Sawulo n’addamu nti, “Bwe nnalabye ng’abasajja batandise okusaasaana, ate nga tozze mu kiseera kye walaga, ate nga n’Abafirisuuti bakuŋŋaanira e Mikumasi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Samwiri n'agamba nti, “Okoze ki?” Sawulo n'addamu nti, “Nnalabye ng'abantu basaasaana nga banvaako, ate nga naawe tojjidde mu nnaku ze wagamba, n'Abafirisuuti nga bakuŋŋaanidde e Mikumasi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Samweli n'agamba nti: “Okoze ki?” Sawulo n'addamu nti: “Nalabye ng'abantu basaasaana nga banvaako, ate nga naawe tojjidde mu nnaku ze wagamba, n'Abafilistiya nga bakuŋŋaanidde e Mikumasi;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Samwiri n'ayogera nti Okoze ki? Sawulo n'ayogera nti Kubanga nalabye ng'abantu basaasaanye nga banvaako so naawe nga tojja mu biro ebyateekebwawo n'Abafirisuuti nga bakuŋŋaanidde e Mikumasi;