1 Samuel 13:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
awo ne ndowooza nti Abafilistini bajja kukkirira okunnumba e Gilugali ate nange nga sinnaba kusaba Mukama mukisa, ne mpalirizibwa okuweereza ekitambiro ekyokye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne ndowooza nti, ‘Kaakano Abafirisuuti bagenda kukkirira okunnumba e Girugaali, nga sinnaba kwegayirira kufuna mukisa gwa Mukama, kyenvudde mpalirizibwa okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne ŋŋamba nti, ‘Abafirisuuti bagenda kuserengeta bannumbe wano e Girugaali, ate nga sinnaba kwegayirira Mukama kunkwatirwa kisa.’ Kyennavudde nneewaliriza n'empaayo ekiweebwayo ekyokebwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne ŋŋamba nti Abafilistiya bagenda kuserengeta bannumbe wano e Gilugaali, ate nga sinnaba kwegayirira Mukama kunkwatirwa kisa. Kyennavudde nneewaliriza ne mpaayo ekiweebwayo ekyokebwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kyennavudde njogera nti Abafirisuuti banaaserengeta e Girugaali okulwana nange, so sinnaba kwegayirira kisa kya Mukama: kyennavudde neegumiikiriza n'empaayo ekiweebwayo ekyokebwa.