1 Samuel 13:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kati obwakabaka bwo tebukyanywedde; Omukama yeenoonyerezzaayo omusajja omutima gwe gwe gusiimye; amutaddewo abeere omukulembeze w'abantu be, kubanga ggwe tokuumye Mukama bye yalagira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kaakano obwakabaka bwo tebuliba bwa lubeerera. Mukama anoonyezzaayo omusajja alina omutima ogumunoonya era amulonze okuba omukulembeze w’abantu be, kubanga tokuumye kiragiro kya Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kaakano obwakabaka bwo tebuliba bwa lubeerera; Mukama yeenoonyerezza omusajja alina omutima ogulinga ogugwe, era Mukama amutaddewo okuba omukulu w'abantu be, kubanga ggwe togondedde ekyo Mukama kye yakulagira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kaakano obwakabaka bwo tebuube bwa nsikirano. Mukama yeenoonyerezzaayo omuntu gw'asiimye, era oyo gw'alonze okukulembera abantu be, kubanga ggwe tokutte kye yakulagira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kaakano obwakabaka bwo tebuliba bwa lubeerera: Mukama yeenoonyerezza omusajja aliŋŋanga omutima gwe ye, era Mukama amutaddewo okuba omukulu w'abantu be, kubanga tokutte ekyo Mukama kye yakulagira.