1 Samuel 13:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli n'asituka, n'ava e Gilugali ne yeetambulira gage. Bo abantu abalala ne bagoberera Sawulo okusisinkana eggye ly'abatabaazi. Ne bava e Gilugali ne balaga e Gibewa ekya Benyamiini. Sawulo n'abala abantu abaali naye ku olwo baali bawera abasajja nga lukaaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Samwiri n’ava e Girugaali n’ayambuka e Gibea mu Benyamini, Sawulo n’abala abasajja abaali naye, nga baawera nga lukaaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Samwiri n'agolokoka n'ava e Girugaali n'ayambuka e Gibea ekya Benyamini. Sawulo n'abala abantu abaali awamu naye, abasajja nga lukaaga (600).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Samweli n'asituka n'ava e Gilugaali n'ayambuka e Gibeya ekya Benyamiini. Sawulo n'abala abantu abaali awamu naye, abasajja nga lukaaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Samwiri n'agolokoka n'ava e Girugaali n'ayambuka e Gibea ekya Benyamini. Sawulo n'abala abantu abaali awamu naye, abasajja nga lukaaga.