1 Samuel 13:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo yali mu Geba ekya Benyamiini ne Yonatani mutabani we, n'abantu be baali nabo; bo Abafilisitiini baali basiisidde Mikumasi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo ne mutabani we Yonasaani, n’abasajja abaali nabo baali basiisidde e Gebea ekya Benyamini, ate ng’Abafirisuuti bo basiisidde Mikumasi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo ne Yonasaani mutabani we n'abantu abaali awamu nabo ne batuula e Geba ekya Benyamini; naye Abafirisuuti ne basiisira e Mikumasi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo ne mutabani we Yonataani, n'abantu abaali awamu nabo, ne basigala e Geba ekya Benyamiini, naye Abafilistiya ne basiisira e Mikumasi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo ne Yonasaani mutabani we n'abantu abaali awamu nabo ne batuula e Geba ekya Benyamini: naye Abafirisuuti ne basiisira e Mikumasi.