1 Samuel 13:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nsi ya Yisirayeli mwonna temwali muweesi, kubanga Abafilisitiini baali bagambye nti: “Sikulwa ng'Abeebureeyi baweesa ebitala n'amafumu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu nsi yonna eya Isirayiri temwali muweesi n’omu, kubanga Abafirisuuti baali baasalawo nti, “Si kulwa ng’Abaebbulaniya beeweeseza ebitala oba amafumu!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu nsi ya Isiraeri yonna temwalimu muweesi, kubanga Abafirisuuti baagamba nti, “Abaebbulaniya baleme okweweeseza ebitala oba amafumu;”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu nsi ya Yisirayeli yonna temwalimu muweesi, kubanga Abafilistiya baali baweze Abeebureeyi okweweesa ebitala n'amafumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo newatalabika muweesi mu nsi yonna eya Isiraeri: kubanga Abafirisuuti baayogera nti Abaebbulaniya baleme okweweeseza ebitala oba mafumu: