1 Samuel 13:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo yalonda abasajja enkumi ssatu okuva mu Yisirayeli, ate mu Mikumasi ne mu Beteli waaliyo enkumi bbiri abaali naye; ate olukumi lwali ne Yonatani mu Gibewa ekya Benyamiini. Abantu abalala n'abasiibula, buli omu n'adda mu weema ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo yalonda abasajja enkumi ssatu okuva mu Isirayiri, enkumi ebbiri ku bo ne babeera naye e Mikumasi ku lusozi olw’e Beseri, n’abalala lukumi ne babeera ne Yonasaani e Gibea ekya Benyamini. Abasajja abalala bonna n’abasindika baddeyo ewaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo ne yeerondera abasajja ba Isiraeri enkumi ssatu (3,000), enkumi ebbiri (2,000) ne babeeranga naye e Mikumasi ne ku lusozi e Beseri, ate olukumi (1,000) ne baabeeranga ne Yonasaani e Gibea ekya Benyamini; abantu abalala bonna n'abasiibula okuddayo ewaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo ne yeeroboza mu Bayisirayeli abasajja enkumi ssatu. Ku abo, enkumi bbiri baabeeranga naye e Mikumasi ne mu nsi ey'ensozi ey'e Beteli, olukumi ne babeeranga ne Yonataani e Gibeya mu kitundu kya Benyamiini. Abantu abalala bonna n'abasiibula buli omu okuddayo mu maka ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo ne yeerondera abasajja ba Isiraeri enkumi ssatu; ku abo enkumi bbiri baabanga ne Sawulo e Mikumasi ne ku lusozi olw'e Beseri; n'olukumi baabanga ne Yonasaani e Gibea ekya Benyamini: n'abantu abalala bonna n'abasindika buli muntu mu weema ye.