1 Samuel 13:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuwagaza enkumbi n'obusimo nga basasula ebyokusatu bibiri ebya sekeli eya ffeeza; ate okuwagaza embazzi n'okusongoza emiwunda nga basasula kyakusatu ekya sekeli eya ffeeza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baalinanga omuwendo gwe baasasulanga olw’okuwagala enkumbi ey’amannyo abiri n’ebiwabyo, nga gwa njawulo ku ogwo gwe baawangayo olw’okuwagala embazzi n’emiwunda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne babawoozangako ssente bbiri okuwagala enkumbi n'ebiwabyo, ate ne babaggyangako ssente emu okuwagala embazzi, n'okuddaabiriza emiwunda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne babawoozangako ssente bbiri okuwagala enkumbi n'ebiwabyo, ate ne babaggyangako ssente emu okuwagala embazzi, n'okuddaabiriza emiwunda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye baalina muyamba olw'ebifumu n'ebiwabyo n'amakato n'embazzi; n'olw'okuwagala emiwunda.