1 Samuel 13:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olw'okulwana e Mikumasi abatabaazi bonna abaali ne Sawulo ne Yonatani tewaali yasangibwa na kitala wadde effumu, okuggyako Sawulo ne Yonatani be baasangibwa nabyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ku lunaku olw’olutalo tewaali muserikale n’omu ku baali ne Sawulo ne Yonasaani, eyalina ekitala wadde effumu, okuggyako Sawulo ne mutabani we Yonasaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale ku lunaku olw'olutalo, tewaali muntu n'omu ku abo abaali ne Sawulo ne Yonasaani, eyalina ekitala, wadde effumu, okuggyako Sawulo ne mutabani we Yonasaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ku lunaku olw'olutalo, tewaali muntu n'omu ku abo abaali ne Sawulo ne Yonataani, eyalina ekitala, wadde effumu, okuggyako Sawulo ne mutabani we Yonataani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka mu biro eby'entalo ne watalabika kitala newakubadde effumu mu mukono gw'omuntu yenna ku abo abaali ne Sawulo ne Yonasaani: naye Sawulo ne Yonasaani mutabani we be baalina.