1 Samuel 13:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli yenna n'awulira; ne bagamba nti: “Sawulo amaze n'akuba enkambi y'Abafilisitiini, Yisirayeli akyayiddwa mu Bafilisitiini.” Abantu ne bayitibwa eri Sawulo mu Gilugali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Isirayiri yenna bwe baawulira nga Sawulo awambye olusiisira lw’Abafirisuuti, ate nga Isirayiri yali efuuse ekyenyinyalwa eri Abafirisuuti, abantu ne balagirwa okwegatta ku Sawulo e Girugaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isiraeri yenna ne bawulira nga boogera nga Sawulo akubye ekigo eky'Abafirisuuti era nga Isiraeri Abafirisuuti bamutamiddwa. Abantu ne bakuŋŋaanira e Girugaali okugoberera Sawulo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli bonna ne bawulira nti Sawulo awangudde enkambi y'Abafilistiya era nti Abafilistiya beetamiddwa Abayisirayeli. Awo abantu ne bayitibwa beegatte ku Sawulo e Gilugaali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isiraeri yenna ne bawulira nga boogera nga Sawulo akubye ekigo eky'Abafirisuuti era nga Isiraeri Abafirisuuti bamutamiddwa. Abantu ne bakuŋŋaanira e Girugaali okugoberera Sawulo.