1 Samuel 13:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli bwe baalaba nga bali mu kattu, anti baali banyigiriziddwa; abantu ne beekweka mu mpuku ne mu busaka, ne mu njazi ne mu binnya ne mu nzizi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja Abayisirayiri bwe baalaba ng’embeera yaabwe mbi nnyo, n’eggye lyabwe nga linnyigirizibwa omulabe, ne beekweka mu mpuku, ne mu bisaka ne mu njazi, ne mu binnya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaisiraeri bwe baalaba nga bali mu kabi, era ng'eggye lyabwe lifumbiikiriziddwa, ne beekweka mu mpuku, ne mu bisaka, ne mu mpampagama z'enjazi ne mu bunnya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli bwe baalaba nga bali mu kabi, era ng'eggye lyabwe lifumbiikiriziddwa, ne beekweka mu mpuku, ne mu bisaka, ne mu mpampagama z'enjazi ne mu bunnya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abasajja ba Isiraeri bwe baalaba nga bali bubi (kubanga abantu baali balabye ennaku,) awo abantu ne beekweka mu mpuku ne mu bisaka ne mu mayinja ne mu mpampagama ne mu bunnya.