1 Samuel 13:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abeebureeyi abalala ne basomoka Yorudani, ne balaga mu nsi ya Gaadi n'eya Gileyaadi. Sawulo yasigala Gilugali, abantu bonna ab'omu ggye lye abaali bamugoberera ne bakankana olw'okutya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne wabaawo n’abamu ku Baebbulaniya abaasomoka Yoludaani ne bagenda mu nsi ya Gaadi ne Gireyaadi. Sawulo ye n’asigala e Girugaali, n’abaserikale bonna be yali nabo, naye nga bajjudde okutya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era abamu ku Baebbulaniya baali basomose Yoludaani ne bagenda mu nsi ya Gaadi ne Gireyaadi, naye Sawulo yali ng'akyali e Girugaali, abantu bonna ne bamugoberera nga bakankana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abamu ku Beebureeyi ne basomoka omugga Yorudaani ne bayingira mu nsi ya Gaadi n'eya Gileyaadi. Sawulo yali akyali Gilugaali. Abantu bonna ne bamugoberera nga bakankana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abamu ku Baebbulaniya baali basomose Yoludaani ne bagenda mu nsi ya Gaadi ne Gireyaadi: naye Sawulo yali ng'akyali e Girugaali, abantu bonna ne bamugoberera nga bakankana: