1 Samuel 13:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'alindirira ennaku musanvu okutuusa ku kadde Samweli ke yali alaze, naye nga Samweli tatuuka mu Gilugali; abantu ne batandika okusaasaana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alinda okumala ennaku musanvu, ebbanga Samwiri lye yali amulaze, naye Samwiri n’atajjirawo e Girugaali, n’abasajja ba Sawulo ne batandika okumuvaako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo nnamala ennaku musanvu e Girugaali nga alinda Samwiri nga bwe yali amugambye, naye Samwiri nnaatajja; abantu ne basaasaana nga bamuvaako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'amala ennaku musanvu ng'alinda Samweli, nga Samweli bwe yali amulagidde. Kyokka Samweli yali tannajja Gilugaali. Abantu ne batandika okusaasaana nga bava ku Sawulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amala ennaku musanvu ng'ebiro bwe byali Samwiri bye yateekawo: naye Samwiri nga tannajja e Girugaali; abantu ne basaasaana nga bamuvaako.