1 Samuel 14:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bwe banaatugamba nti: ‘Mwambuke gye tuli,’ nga twambuka, kubanga ekyo kinaategeeza nti Omukama abawaddeyo mu mikono gyaffe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe banaatugamba nti, ‘Mujje gye tuli,’ tunaayambuka, kubanga ako ke kanaaba akabonero gye tuli nti Mukama abagabudde mu mukono gwaffe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe banaayogera nti, ‘Mujje gyetuli;’ awo tunagenda; kubanga ako ke kanaabeera akabonero nga Mukama abagabudde mu mukono gwaffe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe banaagamba nti: ‘Mujje gye tuli,’ olwo tunaagenda, kubanga ako ke kanaabeera akabonero akatulaga nti Mukama abagabudde mu mikono gyaffe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe banaayogera nti Mujje gye tuli; awo tunaayambuka: kubanga Mukama abagabudde mu mukono gwaffe: era ako ke kanaabeera akabonero gye tuli.