1 Samuel 14:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja b'omu nkambi ne bagamba Yonatani n'omwetissi w'ebyokulwanyisa bye nti: “Mwambuke gye tuli tubalage enkola.” Yonatani n'agamba omwetissi w'ebyokulwanyisa bye nti: “Ngoberera, twambuke, kubanga Omukama abawaddeyo mu mikono gya Yisirayeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja ab’omu nkambi ne bakoowoola Yonasaani n’omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nga boogera nti, “Mwambuke gye tuli, tubalage enkola.” Awo Yonasaani n’agamba omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, “Ngoberera twambuke kubanga Mukama abawaddeyo mu mukono gwa Isirayiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja ab'omu kigo ne bakoowoola Yonasaani n'omulenzi eyamusitulirangako eby'okulwanyisa bye ne babagamba nti, “Mujje gyetuli tubalage enkola.” Awo Yonasaani n'agamba omulenzi eyamusitulirangako eby'okulwanyisa bye nti, “Ngoberera tugende kubanga Mukama abagabudde mu mukono gwa Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja ab'omu nkambi ne bakoowoola Yonataani n'omukwasi w'ebyokulwanyisa bye nti: “Mujje tubalage enkola.” Yonataani n'agamba omukwasi w'ebyokulwanyisa bye nti: “Jjangu ongoberere, kubanga Mukama abagabudde mu mikono gya Yisirayeli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja ab'omu kigo ne baddamu Yonasaani n'oyo eyatwalanga ebyokulwanyisa bye ne boogera nti Mwambuke gye tuli tubalage ekigambo. Awo Yonasaani n'agamba eyatwalanga ebyokulwanyisa bye nti Yambuka ongoberere: kubanga Mukama abagabudde mu mukono gwa Isiraeri.