1 Samuel 14:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yonatani n'alinnyira ku magulu n'emikono nga n'omwetissi w'ebyokulwanyisa bye amuvaako emabega; Abafilisitiini ne bagwa, ng'eno omwetissi w'ebyokulwanyisa bye amuvaako ennyuma ajja atta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yonasaani n’alinnyalinnya, ng’ayavula nga n’omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye bw’amuvaako emabega. Yonasaani n’atta Abafirisuuti, n’omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye ng’amuvaako emabega naye n’atta abo abaali bawonyeewo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yonasaani n'alinnya linnya ng'ayavula n'omulenzi eyamusitulirangako eby'okulwanyisa bye ng'amugoberera. Yonasaani n'alumba Abafirisuuti n'abakuba, nga n'oyo eyamusitulirangako eby'okulwanyisa bye bwa batta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yonataani n'alinnyalinnya ng'ayavula, n'omukwasi w'ebyokulwanyisa bye ng'amugoberera. Yonataani n'agenda ng'abasanjaga, n'omukwasi w'ebyokulwanyisa bye naye n'abatta, ng'amuvaako emabega.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yonasaani n'alinnya ng'ayavula n'engalo n'ebigere n'eyatwalanga ebyokulwanyisa bye ng'amugoberera: ne bagwa mu maaso ga Yonasaani; n'eyatwalanga ebyokulwanyisa bye n'abatta ng'amuvaako nnyuma.