1 Samuel 14:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Entiisa n'egwa mu nsiisira wonna, mu baali mu lusiisira, mu baali ku ttale, mu baali mu nkambi ne mu baali ku gw'okwaya; ensi n'ekankana. Katonda ye yakuba entiisa eyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne waba okutya kungi nnyo mu ggye lyonna ery’Abafirisuuti abo abaali mu nkambi n’abaali ku ttale; era n’ab’omu bibinja ebirala n’ebibondo ebirumba n’ettaka ne likankana. Okukankana okwo kwava eri Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abafirisuuti abali mu kigo n'abaali mu nnimiro n'abalala bonna ne bakankana olw'okutya. Abaali mu kigo era n'abo abagenda okunyaga ne batekemuka nnyo. Ensi n'ekankana newabaawo entiisa nnene.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abafilistiya abaali mu lusiisira n'abaali mu nnimiro, n'abalala bonna, ne bakankana olw'okutya. Abaali mu nkambi era n'abo abaagenda okunyaga, ne batekemuka olw'okutya. Ensi n'ekankana, ne wabaawo entiisa ey'amaanyi, eyaleetebwa Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne wabaawo okukankana mu lusiisira ne mu nnimiro ne mu bantu bonna; ab'omu kigo n'abakwekwesi ne bakankana nabo: ensi n’ekankana awo ne wabaawo okukankana okunene enyo.