1 Samuel 14:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'agamba abantu abaali naye nti: “Mukuŋŋaanye abantu tulabe eyagenze okuva mu ffe.” Ne bazuula nga Yonatani n'omwetissi w'ebyokulwanyisa bye tebaliiwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sawulo n’alagira abasajja abaali naye nti, “Mubale abasajja bonna, mulabe ataliiwo.” Bwe baabala, ne bazuula nga Yonasaani n’eyasitulanga ebyokulyanyisa bye tebaliiwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sawulo n'agamba abantu abaali naye nti, “Mubale abantu tulabe abataliiwo.” Awo bwe babala ne bazuula nga Yonasaani n'eyasitulanga eby'okulwanyisa bye nga tebaliiwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'agamba abantu abaali naye nti: “Mubale abantu, mulabe ataliiwo.” Bwe baabala, ne basanga nga Yonataani n'omukwasi w'ebyokulwanyisa bye tebaliiwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sawulo n'agamba abantu abaali naye nti Mubale kaakano, mulabe bw'ali atuvuddemu. Awo bwe baabala, laba, Yonasaani n'eyatwalanga ebyokulwaayisa bye nga tebaliiwo.