1 Samuel 14:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'agamba Akiya nti: “Ggyayo efodi;” anti mu bbanga eryo ye yalina efodi mu Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo n’agamba Akiya nti, “Leeta essanduuko ya Katonda,” kubanga mu biro ebyo yali mu mikono gy’Abayisirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo n'agamba Akiya nti, “Leeta wano ssanduuko ya Katonda.” Kubanga essanduuko ya Katonda yali eyo mu biro ebyo essanduuko ya Katonda yali wamu n'abaana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'agamba Ahiya nti: “Leeta wano Essanduuko ya Katonda.” Ku lunaku olwo, Essanduuko ya Katonda, Abayisirayeli baali bagenze nayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo n'agamba Akiya nti Leeta eno ssanduuko ya Katonda. Kubanga essanduuko ya Katonda yali eyo mu biro ebyo wamu n'abaana ba Isiraeri.