1 Samuel 14:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo aba ayogera ne kabona, oluyoogaano ne lweyongera mu lusiisira lw'Abafilisitiini; ne lugenda nga lugejja n'okukanguka. Sawulo n'agamba kabona nti: “Ssa omukono gwo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sawulo bwe yali ng’akyayogera ne kabona, akeegugungo ne keeyongera mu nkambi y’Abafirisuuti, n’agamba kabona nti, “Zaayo omukono gwo, ogira olindako.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka, Sawulo bwe yali nga akyayogera ne kabona, oluyoogaano olwali mu lusiisira olw'Abafirisuuti ne lubaawo ne lweyongera; Sawulo n'agamba kabona nti, “Zzaayo omukono gwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka Sawulo bwe yali ng'ayogera ne kabona, oluyoogaano olwali mu lusiisira lw'Abafilistiya ne lweyongera. Sawulo n'agamba kabona nti: “Ggyayo omukono gwo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka, Sawulo ng'ayogera ne kabona, oluyoogaano olwali mu lusiisira olw'Abafirisuuti ne lubaawo ne lweyongera: Sawulo n'agamba kabona nti Zzaayo omukono gwo.