1 Samuel 14:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo yali abeera ku njegooyego za Gibewa, wansi w'omuti omukomamawanga ogwali e Miguroni; abantu abaali naye nga bawera abasajja nga lukaaga,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo yali asiisidde ku njegoyego za Gibea wansi w’omukomamawanga mu Migulooni. Yalina abaserikale nga lukaaga;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo yali ku njegoyego za Gibea wansi w'omukomamawanga oguli e Miguloni; abasajja abaali naye baali nga lukaaga (600),
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo yali ku njegoyego za Gibeya, wansi w'omuti omukomamawanga oguli e Migironi. Abantu abaali naye baali nga lukaaga,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo n'abeera mu kitundu eky'e Gibea eky'enkomerero munda w'omukomamawanga oguli e Miguloni: n'abantu abaali naye baali abasajja nga lukaaga;