1 Samuel 14:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'abantu bonna abaali naye ne bakuŋŋaana, ne bagenda awaali okulwana. Baasanga wonna waliwo akatabanguko kanene nnyo, nga buli omu ekitala akyolekezza munne.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sawulo n’abasajja be ne beekuŋŋaanya ne bagenda mu lutalo, ne basanga ng’Abafirisuuti balwanagana bokka ne bokka, nga bafumitagana ebitala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sawulo n'abantu bonna abaali naye ne bakuŋŋaana ne balumba Abafirisuuti okulwana nabo; naye ne basanga nga Abafirisuuti battiŋŋana bokka olw'okutabukatabuka okwali mu bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'abantu bonna abaali naye ne bakuŋŋaana ne bagenda awalwanirwa olutalo, ne basanga ng'abantu battiŋŋana olw'okutabukatabuka ennyo okwaliwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sawulo n'abantu bonna abaali naye ne bakuŋŋaana ne bajja okulwana: awo laba, ekitala kya buli muntu ne kirwana ne munne ne waba okukeŋŋentererwa okunene ennyo.