1 Samuel 14:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'Abayisirayeli bonna abaali beekukumye mu nsozi za Efurayimu, bwe baawulira nti Abafilisitiini badduse, nabo ne beegatta ku bannaabwe mu lutalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abayisirayiri bonna abaali beekwese mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu bwe baawulira ng’Abafirisuuti badduse, amangwago nabo ne beenyigira mu lutalo ne bannaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abaisiraeri bonna abaali beekwese mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, bwe baawulira Abafirisuuti nga badduse, nabo ne bajja ne beetaba mu lutalo ne babawondera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era bwe batyo n'abasajja bonna Abayisirayeli abaali beekwese mu nsi ey'ensozi eya Efurayimu, bwe baawulira nti Abafilistiya badduse, nabo ne babawondera mu lutalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe batyo n'abasajja bonna aba Isiraeri abaali beekwese mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, bwe baawulira Abafirisuuti nga badduse, era nabo ne babagobererera ddala mu lutalo.