1 Samuel 14:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Basajja ba Yisirayeli baali bakoowu ku olwo, kubanga Sawulo yali abalayizza nti: “Yenna anaakomba ku mmere ng'akawungeezi tekannatuuka, nga sinnawoolera ggwanga ku balabe bange, wa kuvumirirwa.” Tewaali n'omu yalya ku kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo abasajja Abayisirayiri baali bajjudde ennaku nnyingi nnyo kubanga Sawulo yali abalayizza ng’agamba nti, “Akolimirwe oyo yenna anaalya akantu konna ng’obudde tebunnawungeera, nga sinnaba kwesasuza ku balabe bange.” Awo ne wataba n’omu ku baserikale akomba ku kantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaisiraeri ne babonaabona nnyo ku lunaku olwo; kubanga Sawulo yali alayiza abantu bonna ng'agamba nti, “Omuntu yenna anaabaako kaalya nga tebunawungeera era nga sinaba kuwalana ggwanga ku balabe bange akolimirwe.” Awo ne wataba muntu yenna alya ku mmere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja Abayisirayeli baabonaabona ku lunaku olwo, kubanga Sawulo yalayiza abantu ng'agamba nti: “Omuntu yenna anaabaako k'alya nga tebunnawungeera era nga sinnamala kuwoolera ggwanga ku balabe bange, akolimirwe.” Kale ne wataba n'omu yakomba ku kaakulya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu ba Isiraeri ne balaba ennaku ku lunaku olwo: naye Sawulo n'alayiza abantu ng'ayogera nti Omuntu akolimirwe anaalya ku mmere yonna okutuusa akawungeezi, nange nga mmaze okuwalana eggwanga ku balabe bange: Awo abantu ne batalega ku mmere n'omu.