1 Samuel 14:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baayingirira olukoola ne balaba omubisi nga guvuluuja guti, naye tewaali yagukwatako n'alya; abantu baali batya ekirayiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe beeyongerayo munda mu kibira ne basanga nga gutonnya, naye ne wataba n’omu agukombako kubanga baali batya ekirayiro kye baakola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu bwe batuuka mu kibira, laba, omubisi gw'enjuki nga gutonnya; naye ne wataba muntu yenna eyagukombako; kubanga baatya ekirayiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baalaba omubisi gw'enjuki nga gutonnya, naye ne wataba n'omu agunnyikamu lugalo kugukombako kubanga abantu baatya ekirayiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu bwe baali batuuse mu kibira, laba, omubisi gw'enjuki nga gutonnya: naye ne wataba muntu eyateeka engalo ze ku mumwa; kubanga abantu baatya ekirayiro.