1 Samuel 14:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye Yonatani yali tawulidde nti kitaawe yali alayizza abantu; yakununkiriza akasammambiro k'omuggo gwe yalina mu ngalo n'akannyika mu kisassalala ky'omubisi gw'enjuki. Bwe yassa omukono gwe ku mumwa, amaaso ge ne gacamuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yonasaani yali tawulidde nga kitaawe alayiza abantu, kyeyava addira omuggo gwe yalina n’annyika omusa gwagwo mu bisenge by’enjuki, n’agukombako, amaaso ge ne ganyirira n’addamu amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yonasaani teyawulira kitaawe bwe yalayiza abantu ekirayiro; kyeyava agolola omusa gw'omuggo ogwali mu mukono gwe, n'agunnyika mu bisenge by'enjuki, nalyako nnafuna amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Yonataani yali tawulidde nga kitaawe alayiza abantu. Awo n'agolola omusa gw'omuggo gwe yali akutte, n'agunnyika mu bisenge by'ebisasala by'enjuki, n'aguggyisaako engalo ze, n'akomba, n'addamu amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yonasaani teyawulira kitaawe bwe yalayiza abantu ekirayiro: kyeyava agolola omusa gw'omuggo ogwali mu mukono gwe, n'agunnyika mu bisenge by'enjuki, n’ateeka engalo ze ku mumwa; amaaso ge ne galaba bulungi.