1 Samuel 14:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omu ku batabaazi n'amugamba nti: “Kitaawo yakuutidde abatabaazi ng'alayira n'okulayira nti: ‘Anaalya ku mmere olwa leero, wa kuvumirira;’ kwe kulaba ng'abatabaazi bayenjebuse.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omu ku baserikale n’amugamba nti, “Kitaawo yatukuutidde n’atulayiza nti, ‘Omuntu yenna anaalya ku mmere leero akolimirwe.’ Era ekyo kye kireetedde abaserikale okuggwaamu amaanyi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omu ku bantu n'amugamba nti, “Kitaawo yakuutira abantu n'abalayiza nga agamba nti, ‘Omuntu anaabaako kalya leero akolimirwe.’ ” Abantu kyebavudde bagwamu amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omu ku bantu n'agamba nti: “Kitaawo yakuutira abantu n'abalayiza ng'agamba nti: ‘Omuntu anaabaako k'alya olwaleero akolimirwe, abantu kyebavudde baggwaamu amaanyi.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omu ku bantu n'addamu n'ayogera nti Kitaawo yakuutira abantu ng'abalayiza ekirayiro ng'ayogera nti Akolimirwe omuntu anaalya ku mmere leero. Abantu ne bayongobera.