1 Samuel 14:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yonatani n'agamba nti: “Kitange yaleetedde ensi omutawaana. Mulaba, amaaso gange gacamuse bwe nkombye katono ku mubisi gw'enjuki guno.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yonasaani n’ayogera nti, “Kitange aleetedde ensi yaffe emitawaana. Laba amaaso gange bwe ganyirira n’amaanyi gange bwe gakomyewo bwe nkombyeko ku mubisi guno ogw’enjuki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yonasaani n'agamba nti, “Kitange abonyaabonyeza abantu kale laba nze bwenzizeemu amaanyi bwendezeeko akatono ku mubisi gw'enjuki guno.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yonataani n'agamba nti: “Kitange abonyaabonyezza abantu. Kale nze nzizeemu amaanyi kubanga ndezeeko katono ku mubisi gw'enjuki guno!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yonasaani n'ayogera nti Kitange anakuwazizza ensi: laba, nkwegayiridde, amaaso gange bwe galabye obulungi, kubanga ndezeeko katono ku mubisi guno ogw'enjuki.