1 Samuel 14:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne Akiya, mutabani wa Akitubu, muganda wa Yikabodi, mutabani wa Finekasi eyasibuka mu Eli. Ye yali kabona w'Omukama mu Silo, nga y'ayambala efodi. Abantu baali tebamanyi nti Yonatani yali agenze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ku bo kwe kwali Akiya eyali ayambadde ekkanzu ey’obwakabona nga ye mutabani wa Akitubu, muganda wa Ikabodi, mutabani wa Finekaasi, mutabani wa Eri, kabona wa Mukama mu Siiro. Tewali yamanya nti Yonasaani agenze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne Akiya mutabani wa Akituubu, muganda wa Ikabodi, mutabani wa Finekaasi, mutabani wa Eri, kabona wa Mukama mu Siiro ng'ayambadde ekkanzu y'obwakabona. Abantu ne batamanya nga Yonasaani agenze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
wamu ne Ahiya, mutabani wa Ahituubu, muganda wa Yikabodi, mutabani wa Finehaasi, Finehaasi mutabani wa Eli, kabona wa Mukama e Siilo. Ahiya oyo yali ayambadde ekyambalo ekiyitibwa efodi. Abantu tebaamanya nga Yonataani agenze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne Akiya, mutabani wa Akitubu, muganda wa Ikabodi, mutabani wa Finekaasi, mutabani wa Eri, kabona wa Mukama mu Siiro, ng'ayambadde ekkanzu. Abantu ne batamanya nga Yonasaani agenze.