1 Samuel 14:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale singa abantu baalidde ku munyago gwe baggye ku balabe, ekikoleddwa Abafilisitiini tekyandisinzeewo?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tekyandisinze nnyo leero singa abasajja baalidde ku munyago gw’abalabe baabwe? Era tebandisse Abafirisuuti abasinga awo obungi?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tekyandisinzeko obulungi, singa olwaleero abantu baalidde ne bakkuta ku munyago gw'abalabe baabwe gwe baasanze era tebandisse Abafirisuuti bangi okusingawo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tekyandisinzeeko obulungi, singa olwaleero abantu baalidde ne bakkuta ku munyago gw'abalabe baabwe gwe baasanze, era tebandisse Abafilistiya bangi okusingawo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tebandisinze nnyo abantu singa balidde leero ku munyago ogw'abalabe baabwe gwe balabye ne bakkuta? kubanga kaakano tewabadde lutta lunene mu Bafirisuuti.