1 Samuel 14:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo batta Abafilisitiini okuva e Mikumasi okutuukira ddala e Ayaloni; abantu ne bakoowa nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayisirayiri we baamalira okutta Abafirisuuti okuva e Mikumasi okutuuka e Ayalooni nga bakooye nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olwo batta Abafirisuuti okuva e Mikumasi okutuuka e Ayalooni, Naye mu kiseera ekyo Abaisiraeri baali bayongobedde olw'enjala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwo batta Abafilistiya, okuva e Mikumasi okutuuka mu Ayiyalooni. Mu kiseera ekyo Abayisirayeli baali baweddemu nnyo amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batta ku Bafirisuuti ku lunaku olwo okuva e Mikumasi okutuuka ku Ayalooni: abantu ne bayongobera nnyo.