1 Samuel 14:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kwe kukka ku munyago ne bakwata ente, endiga n'obuyana, ne babittira ku ttaka, ne babirya nga mukyalimu n'omusaayi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne badda ku munyago, ne baddira endiga n’ente n’ennyana ne bazisalira wansi ku ttaka ne balya ennyama n’omusaayi gwayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu ne bagwa ku munyago, ne banyaga endiga n'ente n'ennyana ne bazittira awo; ne bazirya awamu n'omusaayi gwazo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagwa ku munyago ne bakwata endiga n'ente ennume n'ennyana, ne bazittira awo, abantu ne balya ennyama ng'erimu omusaayi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu ne bagwa ku munyago, ne banyaga endiga n'ente n'ennyana ne bazittira awo: abantu ne bazirya awamu n'omusaayi.