1 Samuel 14:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne babuulira Sawulo nti: “Abantu basobezza eri Omukama. Baabali balya ennyama erimu omusaayi.” N'agamba nti: “Temubadde beesigwa. Muyiringise ejjinja lino eddene kati mulisse wano we ndi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omuntu omu n’ategeeza Sawulo nti, “Abantu basobya ku Mukama kubanga balya ennyama erimu omusaayi.” N’ayogera nti, “Musobezza nnyo. Munjiringisirize wano ejjinja eddene kaakano.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne bamubuulira Sawulo nti, “Laba abantu banyiziiza Mukama ne balya ennyama erimu omusaayi.” Sawulo n'agamba nti, “Musobezza, kale munjiringisize wano ejjinja eddene.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne babuulira Sawulo nti: “Abantu baabano banyiizizza Mukama, nga balya ennyama erimu omusaayi.” Sawulo n'agamba nti: “Muli ba nkwe! Munjiringisize olwaleero, ejjinja eddene.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bamubuulira Sawulo nga boogera nti Laba, abantu basobya ku Mukama kubanga balya wamu n'omusaayi. N'ayogera nti Mukuusizza: munjiringisize ejjinja eddene leero.