1 Samuel 14:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'agamba nti: “Mubune wonna mu bantu mubagambe nti: ‘Buli omu andeetere ente ye n'endiga ye, mubittire kuno, mubirye; naye temusobya eri Mukama nga mulya ennyama erimu omusaayi.’ ” Buli omu ekiro ekyo n'aleeta ente gye yalinawo, ne bazittira eyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo n’agamba nti, “Muyiteeyite mu bantu mubategeeze nti, ‘Buli omu ku mmwe aleete ente ye n’endiga ye muzittire wano era mu zirye. Temuddangayo okusobya ku Mukama nga mulya ennyama erimu omusaayi.’ ” Awo buli omu ku bo n’aleeta ente ye ekiro ekyo n’agisalira awo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo n'agamba nti, “Mugende mu bantu, mubagambe nti, ‘Buli muntu andetere ente ye oba endiga ye muzittire wano mulye, muleme okunyiiza Mukama nga mulya ennyama erimu omusaayi.’ ” Ekiro ekyo abantu bonna ne baleeta buli omu ente ye ne bazittira eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Mugende mu bantu mubagambe nti: ‘Mundeetere wano buli muntu ente ye, na buli muntu endiga ye, muzittire wano mulye. Muleme kunyiiza Mukama, nga mulya ennyama erimu omusaayi.’ ” Ekiro abantu bonna ne baleeta, buli omu ente ye, ne bazittira awo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo n'ayogera nti Musaasaane mu bantu, mubagambe nti Mundeetere wano buli muntu ente ye na buli muntu endiga ye, muzittire wano mulye: so temusobya ku Mukama nga mulya omusaayi. Abantu bonna ne baleeta buli muntu ente ye wamu naye ekiro ekyo ne bazittira eyo.