1 Samuel 14:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'agamba nti: “Tuzinde Abafilisitiini mu kiro, tubaaye okutuusa obudde okukya; temulekaamu n'omu nga mulamu.” Abantu ne bagamba nti: “Kola ky'osiimye.” Naye kabona n'agamba nti: “Twebuuze ku Katonda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sawulo n’ayogera nti, “Tuserengete tugoberere Abafirisuuti ekiro kino tubanyage okutuusa emmambya lw’eneesala, era tuleme okulekawo wadde omu ku bo nga mulamu.” Ne bamuddamu nti, “Kola nga bw’osiima.” Naye kabona n’ayogera nti, “Twebuuze ku Katonda wano.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sawulo n'ayogera nti, “Tuserengete tulumbe Abafirisuuti ekiro, tubanyage okutuusa emmambya lw'eneesala, tubattire ddala bonna.” Ne baddamu nti, “Kola kyonna kyonna ky'osiima.” Naye kabona n'agamba nti, “Tumale okwebuuza ku Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'agamba nti: “Tuserengete tulumbe Abafilistiya ekiro, tubanyage ebintu okutuusa emmambya lw'eneesala era tubatte bonna obutalekaawo n'omu.” Ne baddamu nti: “Kola buli ky'osiima.” Naye kabona n'agamba nti: “Tusemberere Katonda tumwebuuzeeko.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sawulo n'ayogera nti Tuserengete tugoberere Abafirisuuti ekiro, tubanyage okutuusa emmambya lw'eneesala, tuleme okusigaza omuntu ku bo. Ne boogera nti Kola kyonna kyonna ky'osiima. Awo kabona n'ayogera nti Tusemberere Katonda wano.